Add parallel Print Page Options

(A)Dawudi n’alagira Yowaabu, n’abaduumizi b’eggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.”

(B)Naye Yowaabu n’amuddamu nti, “Mukama ayongere ku bantu be, n’okusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?”

Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu n’agenda n’abuna Isirayiri yonna, n’akomawo e Yerusaalemi. (C)Yowaabu n’ategeeza Dawudi omuwendo gw’abasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu n’emitwalo kkumi, ng’okwo kw’otadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda.

Read full chapter

(A)N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”

Read full chapter