Add parallel Print Page Options

34 (A)Weebaze Mukama kubanga mulungi;
    era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Read full chapter

13 (A)Awo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti,

“Mulungi,
    kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.”

Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire.

Read full chapter

21 (A)Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti,

“Mwebaze Mukama
    kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Read full chapter