Add parallel Print Page Options

40 (A)Ate era waaliyo ne baliraanwa baabwe ab’e Isakaali, ne Zebbulooni, ne Nafutaali abaabaleeteranga emmere ku ndogoyi, ne ku ŋŋamira, ne ku nnyumbu ne ku nte, era baalina eŋŋaano nnyingi, ne keeke ez’ettiini, n’ebirimba eby’ezabbibu, n’omwenge, n’amafuta, n’ente n’endiga. Baasanyuka essanyu lingi nnyo nnyini mu Isirayiri.

Read full chapter

Dawudi ne Ziba

16 (A)Awo Dawudi bwe yali ng’atambuddeko ebbanga ttono n’okuva awaali olusiisira, Ziba omuddu wa Mefibosesi n’ajja okumusisinkana. Yalina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, n’ebirimba eby’ezabbibu enkalu kikumi, n’ebirimba eby’ebibala eby’ekyeya kikumi, n’ekita kya wayini.

Read full chapter