1 Bassekabaka 7:49
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
49 (A)ebikondo by’ettaala[a] ebya zaabu ennongoose, bitaano ku luuyi olwa ddyo n’ebitaano ku luuyi olwa kkono, byonna awamu kkumi, mu kifo awaayimirirwanga okwogera;
obusumbi bw’ebimuli; ettabaaza ne makansi nga bya zaabu;
Footnotes
- 7:49 Mu Weema ya Mukama mwalimu ekikondo ky’ettaala kimu kyokka nga kirina amatabi musanvu, (Kuv 25:31-40; 26:35). Mu kifo kyayo, Sulemaani yassaawo ebikondo kkumi eby’ettaala
Zekkaliya 4:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”
Ne muddamu nti, “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu kiriko n’akabakuli kaakwo, n’ettaala zaakwo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo.
Read full chapter
Abaebbulaniya 9:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Mu weema eno mwalimu ebisenge bibiri. Mu kisenge ekisooka nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky’ettaala, n’emmeeza okwabeeranga emigaati emyawule, ekisenge kino kyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu.
Read full chapter
Okubikkulirwa 1:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo by’ettaala ebya zaabu musanvu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.