Add parallel Print Page Options

20 (A)Era munda awaayimirirwanga okwogera mwalimu ebbanga erya mita mwenda obuwanvu, ne mita mwenda obugazi, ne mita mwenda obugulumivu[a]. Munda mwonna n’asiigamu zaabu ennongoose[b], era n’akola n’ekyoto n’akisabika n’emivule.

Read full chapter

Footnotes

  1. 6:20 Ebipimo eby’omunda w’essinzizo byali emirundi ebiri mu bunene okusinga Awatukuvu w’Awatukuvu mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu (Kuv 26)
  2. 6:20 Zaabu ennongoose kabonero akalaga ekitiibwa kya Katonda

33 (A)Eggigi olinyweze n’ebikwaso; olyoke otereeze Essanduuko ey’Endagaano munda waalyo. Eggigi liryoke lyawule Ekifo Ekitukuvu n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 26:33 Ekifo Ekitukuvu Ennyo Kabona Asinga Obukulu yekka ye yakkirizibwanga okuyingira mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, omulundi gumu gwokka mu mwaka, era lwe lunaku olw’okutangiririrako

(A)Era waaliwo olutimbe olwokubiri ng’emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu. (B)Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ky’obubaane ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, n’omuggo gwa Alooni nga gutojjedde, n’ebipande eby’amayinja eby’Amateeka Ekkumi eby’endagaano. (C)Ku kisaanikira ky’essanduuko nga kuliko bakerubbi ab’ekitiibwa nga basiikirizza entebe ey’okusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.

(D)Ebintu byonna nga bimaze okutegekebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga mu kisenge ekisooka buli lunaku ne bakola emirimu gyabwe egy’okuweereza. (E)Naye Kabona Asinga Obukulu yekka ye yayingiranga mu kisenge eky’omunda omulundi gumu buli mwaka. Yagendangayo n’omusaayi, gwe yawangayo ku lulwe n’olw’ebibi by’abantu bye baakolanga mu butanwa. (F)Mu bino byonna, Mwoyo Mutukuvu atutegeeza bulungi nti, Ekkubo erituuka mu bifo ebitukuvu lyali terinnamanyika, ng’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’olubereberye ekyaliwo, n’enkola ey’edda ng’ekyaliwo.

Read full chapter