Add parallel Print Page Options

31 (A)N’agamba Yerobowaamu nti, “Weetwalire ebitundu kkumi, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Laba, ŋŋenda kuggya ku Sulemaani obwakabaka, nkuweeko ebika kkumi.

Read full chapter

15 (A)Kabaka n’atawuliriza bantu. Bino byonna byabaawo Mukama atuukirize ekigambo kye yayogera eri Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.

16 (B)Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,

“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,
    oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese?
Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri!
    Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.”

Awo Abayisirayiri[a] ne beddirayo ewaabwe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:16 Abayisirayiri aboogerebwako wano be b’omu bukiikakkono

21 (A)Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu n’aleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, n’abayonoonyesa n’okusingawo.

Read full chapter