Add parallel Print Page Options

29 (A)Naye kino kye mbategeeza abooluganda nti ekiseera kiyimpawadde. Noolwekyo abo abalina abakazi babe ng’abatabalina. 30 N’abo abakaaba babe ng’abatakaaba, n’abo abasanyuka babe ng’abatasanyuka. N’abo abagula ebintu babe ng’abatalina kintu kye bayita kyabwe. 31 (B)Era n’abo abakozesa eby’oku nsi kuno bireme okubamalamu ennyo, kubanga ensi eya kaakano eggwaawo.

Read full chapter

11 (A)Ebyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero.

Read full chapter

14 (A)Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,

“Zuukuka ggwe eyeebase,
    Ozuukire mu bafu,
    Kristo anaakwakira.”

Read full chapter

Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza.

Read full chapter

(A)Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga.

Read full chapter