Add parallel Print Page Options

Enteekateeka za Pawulo

(A)Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono. Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga. Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bw’alisiima.

Read full chapter