Zabbuli 59:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
Zabbuli 18:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
Zabbuli 18:46
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
46 (A)Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;
era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
Isaaya 12:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
era afuuse obulokozi bwange.”
Kaabakuuku 3:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)kyokka ndijaguliza Mukama,
ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.
Olubereberye 28:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)olwo Mukama n’aba Katonda wange.
Read full chapter
Okuva 3:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ne yeeyongera n’amugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.”
Musa bwe yawulira ebyo n’akweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
Read full chapter
Okuva 3:15-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’
“Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera,
era lye linnya lye nnajjuukirirwangako
mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.
16 (B)“Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri, obategeeze nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira, n’aŋŋamba nti, Ntunuulidde abantu bange, ne ndaba ebibakolebwa mu Misiri.
Read full chapter
Isaaya 25:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
ebintu bye wateekateeka edda,
mu bwesigwa bwo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.