Yeremiya 9:2-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Woowe singa mbadde n’ekisulo
ky’abatambuze mu ddungu,
nnandivudde ku bantu bange
ne mbaleka
kubanga bonna benzi,
bibiina by’abasajja ab’enkwe.
3 (B)“Bategeka olulimi lwabwe
ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
era tebammanyi,”
bw’ayogera Mukama.
4 (C)“Mwegendereze mikwano gyammwe
era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
5 Buli muntu alimba muliraanwa we
era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
6 (D)Mubeera wakati mu bulimba;
mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Yeremiya 16:10-12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’ 11 (B)Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. 12 (C)Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera.
Read full chapter
Ezeekyeri 16:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 (A)kyendiva nkuŋŋaanya baganzi bo bonna, be wasinza, bonna be wayagala ne be wakyawa, gy’oli ne bakwetooloola, ne nkufungulirira mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo.
Read full chapter
Nakkumu 3:5-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye,
“era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo.
Ensi zonna ziriraba obwereere bwo
n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.
6 (B)Ndikukanyugira kazambi,
era ndikufuula ekyenyinyalwa
ne nkufuula eky’okwelolera.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.