Olubereberye 3:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Mu ntuuyo zo
mw’onoggyanga ekyokulya,
okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava,
kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.”
Zabbuli 103:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa
era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
Yobu 33:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Omwoyo wa Katonda ye yankola,
era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
Ebikolwa by’Abatume 17:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna.
Read full chapter
1 Abakkolinso 15:45
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
45 (A)kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng’alina obulamu.” Kyokka Adamu ow’oluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.