1 Samwiri 10:5-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)“Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi. 6 (B)Omwoyo wa Mukama anakukkako mu maanyi, n’owa obunnabbi wamu nabo, era onookyusibwa n’ofuuka omuntu omuggya.
Read full chapter
1 Samwiri 19:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)n’atuma ababaka okumuwamba. Naye bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga boogera eby’obunnabbi, nga Samwiri ye mukulembeze waabwe, Omwoyo wa Katonda n’akka ku basajja ba Sawulo, nabo ne baba nga bali.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.