Add parallel Print Page Options

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
    erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
    okutuuka waggulu mu ggulu.
(B)Abaana abato n’abawere
    wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
    n’oyo ayagala okwesasuza.
(C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
    omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
    bye watonda;
(D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
    omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?

(E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
    n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
(F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
    byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
    era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.

(G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
    era kkulu nnyo mu nsi yonna!