Add parallel Print Page Options

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.

76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
    erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
(A)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
    era abeera mu Sayuuni.
(B)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
    n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

Owa ekitangaala,
    oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
(C)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
    beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
    okuyimusa omukono gwe.
(D)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
    abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

(E)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
    Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
(F)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
    ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
(G)bw’ogolokoka okusala omusango,
    okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (H)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
    n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (I)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
    bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
    kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
    ne bakabaka b’ensi bamutya.