Add parallel Print Page Options

Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange
    era eyayonka amabeere ga mmange,
nandikusanze ebweru
    nandikunywegedde
    ne wataba n’omu annyooma.
(A)Nandikukulembedde
    ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange,
    oyo eyangigiriza.
Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa,
    omubisi ogw’amakomamawanga gange.
(B)Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange
    n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.
(C)Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira,
    temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.

Abemikwano

(D)Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu
    nga yeesigamye muganzi we?

Omwagalwa

Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa.
    Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo
    maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
(E)Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,
    era ng’akabonero ku mukono gwo,
kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,
    obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.
Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,
    omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.
(F)Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala
    n’emigga tegiyinza kukumalawo.
Singa omuntu awaayo
    obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,
    asekererwa nnyo.

Abemikwano

Tulina muto waffe
    atannamera mabeere,
naye tulikola tutya
    bw’alituuka okwogerezebwa?
Singa abadde bbugwe
    twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza,
singa abadde luggi
    twandimuggalidde na mivule.

Omwagalwa

10 Ndi bbugwe
    era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro,
noolwekyo mu maaso ge,
    mmufuukidde aleeta emirembe.
11 (G)Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni,
    n’agisigira abalimi.
Buli omu ku bo yamusalira
    ebitundu bya ffeeza lukumi.
12 (H)Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange,
    ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani,
    ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.

Owoomukwano

13 Ggwe abeera mu nnimiro
    ne mikwano gyo nga weebali,
    ka mpulire eddoboozi lyo.

Omwagalwa

14 (I)Yanguwa okuvaayo eyo,
    odduke mangu ng’empeewo
oba ng’ennangaazi ento,
    oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.