Add parallel Print Page Options

(A)Zaabu ng’ettalazze!
    Zaabu ennungi ng’efuuse!
Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye
    buli luguudo we lutandikira.

Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo
    abaali beenkana nga zaabu ennungi,
kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba,
    omulimu gw’emikono gy’omubumbi.

(B)Ebibe biyonsa
    abaana baabyo,
naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa,
    bafaanana nga bammaaya mu ddungu.

(C)Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,
    olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;
abaana basaba emmere
    naye tewali n’omu agibawa.

(D)Abaalyanga ebiwoomerera
    basabiriza ku nguudo;
n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka
    bali ku ntuumu ez’ebisasiro.

(E)Ekibonerezo ky’abantu bange
    kisinga ekya Sodomu,
ekyawambibwa mu kaseera akatono,
    nga tewali n’omu azze kukibeera.

Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira,
    nga beeru okusinga amata;
n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu,
    era banyirivu nga safiro.

(F)Naye kaakano badduggala okusinga enziro,
    era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo.
Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe;
    lukaze ng’ekiti ekikalu.

(G)Abafa ekitala bafa bulungi
    okusinga abafa enjala,
kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo
    olw’obutaba na mmere mu nnimiro.

10 (H)Abakazi ab’ekisa abaagala abaana
    bafumbye abaana baabwe;
abaana abaafuuka emmere
    abantu bange bwe baazikirizibwa.

11 (I)Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi,
    era abayiyeeko obusungu bwe obungi.
Yakoleeza omuliro mu Sayuuni
    ogwayokya emisingi gyakyo.

12 (J)Bakabaka b’ensi
    n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza,
nti abalabe n’ababakyawa baliyingira
    mu wankaaki wa Yerusaalemi.

13 (K)Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be,
    n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be,
abaayiwa omusaayi
    gw’abatuukirivu abaababeerangamu.

14 (L)Badoobera mu nguudo
    nga bamuzibe;
bajjudde omusaayi
    so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.

15 (M)Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu!
    Muviireewo ddala, so temutukwatako!”
Bwe baafuuka emmombooze,
    amawanga gabagobaganya nga boogera nti,
    “Tebakyasaana kubeera wano.”

16 (N)Mukama yennyini abasaasaanyizza,
    takyabafaako.
Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa,
    newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.

17 (O)Amaaso gaffe gakooye
    olw’okulindirira okubeerwa okutajja;
nga tulindirira
    eggwanga eriyinza okutulokola.

18 (P)Baatucocca
    ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe;
enkomerero yaffe n’eba kumpi,
    n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.

19 (Q)Abaatuyiganyanga baatusinga embiro
    okusinga n’empungu ez’omu bbanga.
Baatugobera mu nsozi
    ne batuteegera mu ddungu.

20 (R)Oyo Mukama gwe yafukako amafuta
    yagwa mu mitego gyabwe.
Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye
    ne tubeeranga mu mawanga.

21 (S)Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu,
    abeera mu nsi ya Uzi;
naye lumu olinywa ku kikompe
    n’otamiira ne weeyambula.

22 (T)Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo,
    talikwongerayo mu busibe.
Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza,
    n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.