Add parallel Print Page Options

Omufuzi ava mu Besirekemu

(A)Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye,
    kubanga tulumbiddwa.
Omukulembeze wa Isirayiri
    balimukuba omuggo ku luba.

(B)“Naye ggwe Besirekemu Efulasa,
    newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,
mu ggwe mwe muliva alibeera
    omufuzi wange mu Isirayiri.
Oyo yaliwo okuva edda n’edda,
    ng’ensi tennabaawo.”

Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo
    okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana,
era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo
    eri bannaabwe mu Isirayiri.

(C)Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye
    mu maanyi ga Mukama,
    mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we.
Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu
    okutuusa ku nkomerero y’ensi.
    (D)Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe.
Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe
    n’abuna ebigo byaffe,
tulimuyimbulira abasumba musanvu,
    n’abakulembeze munaana.
(E)Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala
    era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone.
Naye alitulokola eri Omwasuli
    bw’alitulumba mu nsi yaffe
    era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.

(F)Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera
    wakati mu mawanga agabeetoolodde,
babe ng’omusulo oguva eri Mukama,
    ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo
obutalindirira muntu
    oba abaana b’abantu.
(G)Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,
    abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;
ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,
    bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula
    ne wataba n’omu aziwonya.
(H)Omukono gwo guliwangula abalabe bo,
    ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.

10 (I)“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,

“Ndizikiriza embalaasi zo
    ne nsanyaawo n’amagaali go.
11 (J)Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo
    era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.
12 (K)Obulogo bwo ndibumalawo
    era toliddayo kukolima nate.
13 (L)N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza.
    Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga;
temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda
    be mwekoledde n’emikono gyammwe.
14 (M)Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe,
    ebibuga byammwe n’embizikiriza.
15 (N)Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde
    n’obusungu n’ekiruyi.”