Add parallel Print Page Options

Katonda Agumya Isirayiri

41 (A)“Musirike mumpulirize mmwe ebizinga,
    amawanga gaddemu amaanyi.
Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero.
    Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.

(B)“Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba,
    eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu?
Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga,
    n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye,
obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro
    ebitwalibwa empewo?
N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo
    ebigere bye gye by’ali bitayitanga.
(C)Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu
    okuva ku lubereberye?
Nze Mukama ow’olubereberye
    era ow’enkomerero, nze wuuyo.”

(D)Ebizinga by’alaba ne bitya;
    n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka.
Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti;
    “Guma omwoyo!”
(E)Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo,
    n’oyo ayooyoota n’akayondo
    n’agumya oyo akuba ku luyijja
ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,”
    era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.

Isirayiri Yalondebwa Katonda

(F)“Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange,
    Yakobo gwe nalonda,
    ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,
(G)ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi
    ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala,
ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’
    nze nakulonda so sikusuulanga:
10 (H)Totya kubanga nze ndi wamu naawe;
    tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.
Nnaakuwanga amaanyi.
    Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”

Isirayiri Alinnya ku Balabe be

11 (I)“Laba, abo bonna abakukambuwalidde
    balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.
Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa
    ne baggwaawo.
12 (J)Olibanoonya abo abaakukijjanyanga
    naye n’otobalaba.
Abo abaakulwanyisanga
    baliggwaamu ensa.
13 (K)Kubanga nze Mukama Katonda wo
    akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
    Totya nze nzija kukuyamba.
14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
    totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
    Omutukuvu wa Isirayiri.
15 (L)“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,
    ekyogi eky’amannyo amangi.
Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,
    obusozi ne mubufuula ebisusunku.
16 (M)Oliziwewa empewo n’ezifuumula,
    embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.
Era naawe olisanyukira mu Mukama,
    era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”

Mukama Ayimusa Isirayiri

17 (N)“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi
    ne baganoonya naye ne gababula,
    ate nga ennimi zaabwe zikaze,
nze Mukama ndibawulira,
    nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
18 (O)Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu,
    era n’ensulo wakati mu biwonvu.
Olukoola ndirufuula ennyanja,
    n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.
19 (P)Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya,
    omumwanyi n’omuzeyituuni,
ate nsimbe mu ddungu
    enfugo n’omuyovu awamu ne namukago.
20 (Q)Abantu balyoke balabe bamanye,
    balowooze
era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino,
    nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”

Mukama Asoomooza bakatonda Abalala

21 (R)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti,
    “Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere.
Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.
22 (S)“Baleete bakatonda bwabwe
    batubuulire ebigenda okubaawo.
Batubuulire n’ebyaliwo emabega,
    tusobole okubimanya,
    n’okubirowoozaako
n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
23     (T)Mutubuulire ebigenda okubaawo
    tulyoke tumanye nga muli bakatonda.
Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi
    tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
24 (U)Laba, temuliiko bwe muli
    ne bye mukola tebigasa.
    Abo ababasinza bennyamiza.
25 (V)Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange,
    abeera mu buvanjuba.
Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka,
    abe ng’omubumbi asamba ebbumba.
26 (W)Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye,
    eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’
Tewali n’omu yakyogerako,
    tewali n’omu yakimanya
    era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
27 (X)Nasooka okubuulira Sayuuni
    era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.
28 (Y)Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.
    Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,
    tewali n’omu addamu bwe mbuuza.
29 (Z)Laba, bonna temuli nsa!
    Bye bakola byonna tebigasa.
    Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”