Add parallel Print Page Options

Obwakabaka obw’Obutuukirivu

32 (A)Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu,
    n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.
(B)Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo,
    ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga,
ng’emigga gy’amazzi mu ddungu,
    ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.

(C)Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba,
    n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
(D)Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera,
    n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.
(E)Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa,
    newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.
(F)Omusirusiru ayogera bya busirusiru,
    n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu.
Akola eby’obutatya Katonda,
    era ayogera bya bulimba ku Mukama,
n’abayala abaleka tebalina kintu,
    n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
(G)Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
(H)Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,
    era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.
(I)Mmwe abakazi abateefiirayo,
    mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;
mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,
    muwulire bye ŋŋamba.
10 (J)Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,
    mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,
amakungula g’emizabbibu galifa,
    n’amakungula g’ebibala tegalijja.
11 (K)Mutye mmwe abakazi abateefiirayo,
    mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.
Muggyeko engoye zammwe,
    mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12 (L)Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa,
    olw’emizabbibu egyabalanga,
13 (M)n’olw’ensi ey’abantu bange,
    ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.
Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,
    na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
14 (N)Weewaawo ekigo kirirekebwawo,
    ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa.
Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna,
    ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,
15 (O)okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu,
    n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu,
    n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.
16 Obwenkanya bulituula mu ddungu,
    n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
17 (P)Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,
    n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
18 (Q)Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,
    mu maka amateefu
    mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.
19 (R)Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo,
    n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,
20 (S)ggwe oliraba omukisa,
    ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna,
    n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.