Add parallel Print Page Options

Zikusanze Ekibuga kya Dawudi

29 (A)Zikusanze ggwe Alyeri[a],
    Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu,
yongera omwaka ku mwaka,
    n’entuuko zo ez’embaga zigende mu maaso.
(B)Wabula ndizingiza Alyeri,
    alikuba ebiwoobe era alikungubaga,
    era aliba gye ndi ng’ekyoto kya Alyeri.
(C)Ndikuba olusiisira okukwetooloola wonna,
    era ndikwetoolooza eminaala,
    ne nkusaako ebifunvu.
(D)Olikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka,
    n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu.
Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka,
    n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu.

(E)Naye abalabe bo abangi
    baliba ng’enfuufu eweweddwa,
n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubi
    bibe ng’ebisasiro ebifuumuuka.
(F)Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira
    mu kubwatuuka ne mu musisi,
ne mu ddoboozi ery’omwanguka,
    ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.
(G)Awo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba,
    birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza;
kiriba ng’ekirooto,
    ng’okwolesebwa mu kiro
(H)ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya
    naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala;
oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa
    naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta.
Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna
    agalwana n’Olusozi Sayuuni.

(I)Muwuniikirire era mwewuunye
    Muzibirire era muzibe amaaso;
Batamiire, naye si na nvinnyo,
    batagala, naye si lwa mwenge.
10 (J)Mukama akuwadde otulo tungi,
    azibye amaaso gammwe bannabbi,
    era abisse emitwe gyammwe abalabi.

11 (K)Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” 12 Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”

13 (L)Mukama agamba nti,

“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,
    ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,
    naye ng’emitima gyabwe gindi wala.
Okunsinza kwe bansinza,
    biragiro abantu bye baayigiriza.
14 (M)Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano.
    Amagezi g’abagezi galizikirira,
n’okutegeera kw’abategeevu
    kuliggwaawo.”
15 (N)Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola
    okukweka Mukama enteekateeka zaabwe,
abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti,
    “Ani atulaba? Ani alimanya?”
16 (O)Mufuula ebintu
    ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba.
Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti,
    “Teyankola”?
Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti,
    “Talina ky’amanyi”?

17 (P)Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu,
    n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira?
18 (Q)Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo,
    n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.
19 (R)Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate,
    n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.
20 (S)Weewaawo asinga obubi aliggwaawo,
    n’omunyoomi alibula,
    n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu,
21 (T)abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya,
    abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba,
    ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako.

22 (U)Noolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti,

Yakobo taliddayo kuswazibwa,
    n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.
23 (V)Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe,
    balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu.
Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo
    era baliyimirira
    ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.
24 (W)Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera,
    n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.

Footnotes

  1. 29:1 Alyeri lye linnya eryaweebwa Yerusaalemi.