Add parallel Print Page Options

Obunnabbi Obukwata ku Babulooni

21 (A)Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja:

Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo,
    bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu
    eririraanye ensi etiisa.

(B)Nfunye okwolesebwa okw’entiisa:
    alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga.
Eramu, lumba! Obumeedi zingiza!
    Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.

(C)Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa,
    n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala;
nnyiize olw’ebyo bye mpulira,
    bye ndaba bimazeemu amaanyi.
Omutima gwange gutya,
    Entiisa endetera okukankana;
Akasendabazaana ke nnali njayaanira,
    kanfukidde ekikankano.

(D)Bateekateeka olujjuliro,
    bayalirira ebiwempe,
    ne balya, ne banywa!
Mugolokoke mmwe abakulembeze,
    musiige engabo amafuta.

Kino Mukama ky’aŋŋamba nti,

“Genda ofune omukuumi
    akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.
(E)Bw’alaba amagaali
    n’ebibinja by’embalaasi,
n’abeebagazi ku ndogoyi
    oba abeebagazi ku ŋŋamira
yeekuume,
    era yeegendereze.”

(F)Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,

“Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala,
    buli kiro mbeera ku mulimu gwange.
(G)Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,
    ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.
Era ayanukula bw’ati nti,
    ‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.
Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna
    bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”

10 (H)Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro,
    mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.

Obunnabbi obukwata ku Edomu

11 (I)Obunnabbi obukwata ku Duuma:

Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti,
    “Omukuumi, bunaakya ddi?
    Omukuumi, bunaakya ddi?”
12 Omukuumi ayanukula bw’ati nti,
    “Bulikya, era buliziba.
Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze
    okomewo nate.”

Obunnabbi obukwata ku Buwalabu

13 (J)Obunnabbi obukwata ku Buwalabu:

Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja,
    abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,
14     (K)muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.
15 (L)Badduka ekitala,
    badduka ekitala ekisowole,
badduka omutego ogunaanuddwa,
    badduka n’akabi k’entalo.

16 (M)Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma. 17 (N)Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.