Add parallel Print Page Options

Obunnabbi Obukwata ku Kugwa kwa Babulooni

13 Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba.

(A)Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu,
    mubakaabirire
    mubawenye bayingire mu miryango gy’abakungu.
(B)Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange
    mpise abalwanyi bange ab’amaanyi,
    babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.

(C)Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi,
    nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene!
Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka,
    olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu!
Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka
    eggye lye okulwana.
(D)Bava wala mu nsi ezeewala ennya
    okuva ku nkomerero y’eggulu.
Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa
    eby’okuzikiriza ensi yonna.

(E)Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi,
    lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!
(F)Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi,
    na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka;
(G)era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala.
    Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.

Laba olunaku lwa Mukama lujja,
    olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka
okufuula ensi amatongo,
    n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
10 (H)Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo
    tebiryaka;
enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo,
    n’omwezi nagwo tegulyaka.
11 (I)Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo,
    n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe.
Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala
    era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.
12 (J)Abantu ndibafuula abebbula
    okusinga zaabu ennongoose eya ofiri.
13 (K)Noolwekyo ndikankanya eggulu,
    era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo,
olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye,
    ku lunaku lw’obusungu bwe obungi.

14 (L)Era ng’empeewo eyiggibwa,
    ng’endiga eteriiko agirunda,
buli muntu aliddukira eri abantu be
    buli muntu aliddukira mu nsi y’ewaabwe.
15 (M)Buli anaalabwangako ng’ekitala kimuyitamu,
    buli gwe banaakwatangako ng’attibwa n’ekitala.
16 (N)N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba;
    ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka.

17 (O)Laba, ndibayimbulira Abameedi,
    abatafa ku ffeeza
    era abateeguya zaabu.
18 Emitego gyabwe girikuba abavubuka
    era tebaliba na kisa eri abawere.
    Amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.
19 (P)Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka,
    obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya,
kiriba nga Sodomu ne Ggomola
    Katonda bye yawamba.
20 (Q)Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna,
    so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe,
so teri Muwalabu alisimbayo weema ye,
    teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.
21 (R)Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamirangayo;
    ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola;
bammaaya banaabeeranga eyo,
    n’ebikulekule bibuukire eyo.
22 (S)N’empisi zinaakaabiranga mu bigulumu by’ebigo byabwe,
    ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana.
Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka,
    ennaku ze teziryongerwako.