Add parallel Print Page Options

Ebigambo ba Aguli

30 Bino bye bigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno:

Bw’ati omusajja ono bwe yagamba Isiyeri, Isyeri ono ne Ukali.
Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera,
    sirina kutegeera kwa bantu.
(A)Siyize magezi,
    so n’oyo Omutukuvu simumanyi.
(B)Ani eyali alinnye mu ggulu n’akka?
    Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu ky’engalo ze?
Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye?
    Ani eyatonda enkomerero zonna ez’ensi?
Erinnya lye y’ani, ne mutabani we y’ani?
    Mbulira obanga obimanyi.

(C)Buli kigambo kya Katonda kya mazima,
    era aba ngabo eri abo abamwesiga.
(D)Toyongeranga ku bigambo bye,
    alemenga okukunenya naawe olabike ng’omulimba.

Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi Mukama,
    tobinnyimanga nga sinnafa:
(E)Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala,
    ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza,
    naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.
(F)Nneme okukkutanga ne nkwegaana
    ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?”
Era nnemenga okuba omwavu ne nziba,
    ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.

10 Tosekeetereranga muweereza eri mukama we,
    alemenga okukukolimira, naawe omusango ne gukusinga.

11 (G)Waliwo abo abakolimira bakitaabwe
    ne batasabira na bannyaabwe mukisa;
12 (H)abo abeeraba ng’abatuukirivu bo mu maaso gaabwe,
    ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe.
13 (I)Waliwo abo ab’amalala amayitirivu,
    abatunuza okwemanya okw’ekitalo,
14 (J)n’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala,
    n’emba zaabwe nga zirimu ebiso,
okusaanyaawo abaavu mu nsi,
    n’abo abali mu kwetaaga.

15 (K)Ekinoso kirina bawala baakyo babiri
    abaleekaana nti, “Mpa! mpa!”

Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta,

weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”

16 (L)Amagombe,

olubuto olugumba,

ettaka eritakutta mazzi,

n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!”

17 (M)Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe,
    era n’atagondera nnyina,
liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu,
    ne liriibwa ensega.

18 Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ennyo gye ndi,

weewaawo bina bye sitegeera:

19 Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga,

n’omusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja,

n’ekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja,

n’engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.

20 (N)Bw’ati bwe yeeyisa omukazi omwenzi:
    alya n’asiimuula emimwa gye
    n’agamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”

21 Ensi ekankanira wansi w’ebintu bisatu

weewaawo bina:

22 (O)omuweereza bw’afuuka kabaka,

n’omusirusiru bw’akutta emmere;

23 n’omukazi eyadibira mu ddya;

n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.

24 Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi,

ebirina amagezi amangi ennyo.

25 (P)Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi,

naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;

26 (Q)obumyu busolo bunafu

naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;

27 (R)enzige tezirina kabaka,

kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;

28 omunya oyinza okugukwasa engalo,

naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.

29 Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula,

weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:

30 empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna;

31 sseggwanga,

n’embuzi ennume,

ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.

32 (S)Bw’oba ng’obadde okoze eby’obusirusiru ne weegulumiza,
    obanga obadde oteekateeka okukola ebibi,
    weekomeko weekwate ku mumwa.
33 Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo,
    n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi,
    okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.