Add parallel Print Page Options

Ekitabo ky’Amateeka Kizuulibwa

22 (A)Yosiya n’atandika okufuga nga wa myaka munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu gumu, ng’erinnya lya nnyina ye Yedida, muwala wa Adaya ow’e Bozukasi. (B)N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za jjajjaawe Dawudi, awatali kutaaganaaga.

(C)Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka n’atuma omuwandiisi Safani mutabani wa Azaliya ate muzzukulu wa Mesullamu okulaga mu yeekaalu ya Mukama. N’amugamba nti, (D)“Yambuka eri Kirukiya kabona Asinga obukulu, akutegeeze omuwendo gw’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama abaggazi ze basoloozezza ku bantu. (E)Ensimbi ezo zikwasibwe abasajja abaalondebwa okulabirira omulimu ogwa yeekaalu basasule abakozi abaddaabiriza yeekaalu ya Mukama, (F)ababazzi, n’abazimbi, n’abaasa b’amayinja. Ate era baguleko n’embaawo n’amayinja amateme nga byonna bya kuddaabiriza yeekaalu. (G)Naye tebabuuzibwa engeri gye bakozesezaamu ensimbi ezo, kubanga basajja abakola n’obwesigwa.”

(H)Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n’ategeeza Safani omuwandiisi nti, “Ekitabo eky’Amateeka nkizudde we kibadde mu yeekaalu[a].” N’akiwa Safani n’akisoma. Safani omuwandiisi n’addayo eri kabaka n’amugamba nti, “Abakungu bawaddeyo ensimbi ezibadde mu yeekaalu ya Mukama era bazikwasizza abakozi n’abalabirizi ab’omulimu okuzikozesa n’okulabirira enkozesa yaazo.” 10 (I)Ate era Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona, ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka.

11 Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyasomebwa okuva mu Kitabo eky’Amateeka n’ayuza ebyambalo bye. 12 (J)N’alagira Kirukiya kabona, Akikamu mutabani wa Safani, ne Akubooli mutabani wa Mikaaya, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti, 13 (K)“Mugende mumbuulize eri Mukama, nze, n’abantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa Mukama bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo eby’omu kitabo kino, era tebaakola ng’ebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.”

14 Awo Kirukiya kabona, ne Akikamu, ne Akubooli, ne Safani, ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukyala muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kalukasi omuwanika w’ebyambalo, okumwebuuzaako. Yabeeranga mu kitundu ekyokubiri mu Yerusaalemi. 15 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, 16 (L)‘Mutegeeze oyo abatumye nti ŋŋenda kuleeta ku kifo kino n’abantu bano akabi, ng’ebyawandiikibwa mu kitabo bwe bigamba, kabaka wa Yuda by’asomye. 17 (M)Olw’okunvaako n’olw’okwotereza obubaane eri bakatonda, nga baleetera obusungu bwange okubuubuuka olwa bakatonda be bakoze, ndibaleetako obusungu bwange era tewaliba n’omu alibukkakkanya.’ 18 (N)Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ebikwata ku bigambo bye wawulidde: 19 (O)kubanga obadde mumenyefu mu mutima ne weetoowaza mu maaso ga Mukama bwe wawulidde ebigambo ebyo bye nayogedde ku kifo kino ne ku bantu bano, nti baakuzikirira era baggweewo, ate n’oyuza n’ebyambalo byo nga wennyamidde mu maaso gange, mpulidde okukaaba kwo, bw’ayogera Mukama. 20 (P)Kyendiva nkutwala eri bajjajjaabo, n’oziikibwa mu mirembe, era amaaso go tegaliraba kabi kendireeta ku kifo kino.’ ”

Awo ne bazaayo obubaka obwo eri kabaka.

Footnotes

  1. 22:8 Okuzuula okwo kwe kulaga obujeemu bwa Isirayiri obungi ennyo eri Katonda mu biro bya Manase. Ekitabo eky’Amateeka ekyazuulibwa kye kitabo Eky’amateeka Olwokubiri.