Add parallel Print Page Options

Akabu Yeegomba Ennimiro ya Nabosi

21 (A)Awo ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo ensonga ekwata ku nnimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu, eyali eriraanye olubiri lwa Akabu kabaka wa Samaliya.[a] Awo Akabu n’agamba Nabosi nti, “Mpa ennimiro yo ey’emizabbibu nnimiremu enva, nga bw’eriraanye olubiri lwange. Mu kifo kyayo nzija kukuwaamu ennimiro ey’emizabbibu endala, oba bw’onoosiima, nnaakusasulamu omuwendo ogugigyamu.”

(B)Nabosi n’amuddamu nti, “Kikafuuwe, nze okukuwa obusika bwa bajjajjange.”

(C)Awo Akabu n’addayo eka ng’annyogoze nnyo era nga munyiivu kubanga Nabosi Omuyezuleeri yamugamba nti, “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” N’agalamira ku kitanda kye nga yeesooza, n’agaana n’okulya.

Naye Yezeberi mukazi we n’ayingira, n’amubuuza nti, “Lwaki onnyogoze nnyo bw’otyo n’okulya n’otalya?”

N’amuddamu nti, “Kubanga ŋŋambye Nabosi Omuyezuleeri antunze ennimiro ye ey’emizabbibu, oba bw’anaasiima muwaanyiseemu ennimiro endala. Naye agambye nti, ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ey’emizabbibu.’ ”

(D)Yezeberi mukazi we n’amugamba nti, “Bw’otyo bwe weeyisa nga kabaka wa Isirayiri? Golokoka olye! Ddamu amaanyi. Nzija kukufunira ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu.” (E)Awo Yezeberi n’awandiika amabaluwa mu linnya lya Akabu, n’agassaako akabonero ke, era n’agaweereza eri abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga kya Nabosi. Mu bbaluwa ezo n’awandiika nti,

“Mulangirire okusiiba, mutuuze Nabosi mu kifo abantu bonna we bamulengerera, 10 (F)era mutuuze abasajja babiri okumwolekera bamuwaayirize nti akolimidde Katonda ne kabaka. Oluvannyuma mumutwale ebweru mumukube amayinja, mumutte.”

11 Awo abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga ekyo ne bakola nga Yezeberi bwe yalagira mu mabaluwa ge yabawandiikira. 12 (G)Ne balangirira okusiiba era ne batuuza Nabosi mu kifo w’alabikira obulungi mu bantu. 13 (H)Abasajja babiri ne bajja ne batuula okumwolekera ne bamuwaayiriza mu maaso g’abantu nga bagamba nti, “Nabosi yakolimidde Katonda ne kabaka.” Awo abantu ne bamutwala ebweru w’ekibuga ne bamukuba amayinja ne bamutta. 14 Ne batumira Yezeberi nti, “Nabosi akubiddwa amayinja era afudde.”

15 (I)Amangwago Yezeberi bwe yawulira nti Nabosi yakubibwa amayinja era n’afa, n’agamba Akabu nti, “Golokoka otwale ennimiro ey’emizabbibu eya Nabosi Omuyezuleeri gye yagaana okukuguza, kubanga takyali mulamu, mufu.” 16 Akabu bwe yawulira nti Nabosi afudde n’agolokoka n’aserengeta okutwala ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu. 17 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti, 18 “Serengeta eri Akabu kabaka wa Isirayiri afugira mu Samaliya, kubanga laba ali mu nnimiro ey’emizabbibu eya Nabosi era agenze okugitwala. 19 (J)Mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Tosse omusajja n’okutwala n’otwala obugagga bwe?’ Olyoke omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.’ ”

20 (K)Akabu n’agamba Eriya nti, “Onsanze, ggwe omulabe wange!” N’amuddamu nti, “Nkusanze, kubanga weewaddeyo okukola ebibi mu maaso ga Mukama. 21 (L)Mukama agamba nti, ‘Laba ndikuleetako akabi, ndimalawo ennyumba yo yonna, era ndiggya ku Akabu buli musajja yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. 22 (M)Ndifuula ennyumba yo okuba nga eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n’eya Baasa mutabani wa Akiya, olw’okusunguwaza kwe wansunguwaza bwe wayonoonyesa Isirayiri.’

23 (N)“Ate era n’eri Yezeberi Mukama bw’ati bw’agamba nti, ‘Embwa ziririira Yezeberi okuliraana bbugwe w’e Yezuleeri. 24 (O)Embwa ziririira omuntu yenna owa Akabu alifiira mu kibuga, ate ennyonyi zirye abo bonna abalifiira ku ttale.’ ”

25 (P)Tewali musajja eyafaanana nga Akabu, eyeewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama ng’awalirizibwa mukazi we Yezeberi. 26 (Q)Yakola eby’ekivve ng’agoberera ebifaananyi bya bakatonda, ng’Abamoli[b] be yagoba mu maaso g’abantu ba Isirayiri bwe baakolanga.

27 (R)Awo Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ayuza engoye ze, n’ayambala ebibukutu n’okusiiba n’asiiba. N’agalamira mu bibukutu, era n’atambula nga yeewombeese.

28 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti, 29 (S)“Olabye Akabu bwe yeewombeese mu maaso gange? Olw’okubanga yeewombeese mu maaso gange, sirireeta kabi ako mu mirembe gye, naye ndikaleeta mu nnyumba ye mu mirembe gya mutabani we.”

Footnotes

  1. 21:1 Samaliya kye kyali ekibuga ekikulu eky’obwakabaka obw’omu Bukiikakkono, era kye kyogerebwako wano.
  2. 21:26 Erinnya Abamoli litegeeza abantu bonna Abapalesitayini abaabeeranga mu kitundu ekyo Abayisirayiri nga tebannajja (Lub 15:15; Kuv 23:23; Ma 1:7)